Job 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yobu n'amugamba nti: “Oyogedde ng'omukazi omusiru bw'ayogera. Oba twafuna ebirungi okuva ewa Katonda, tekisaanye n'okukkiriza ebibi?” Mu bino byonna Yobu teyakola kibi mu bye yayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ye n’amuddamu nti, “Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?” Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yobu n'amugamba nti, “Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! tunaaweebwanga ebirungi byokka okuva ewa Katonda ne tutaweebwa bibi?” Mu ebyo byonna Yobu teyayogera bubi ku Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yobu n'amugamba nti: “Oyogera ng'abakazi abasirusiru bwe boogera. Katonda by'atuwa, tunaayanirizanga bisanyusa byokka, ne tutayaniriza binyiga?” Mu ebyo byonna ebyagwawo Yobu teyayogera bubi ku Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'amugamba nti Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! Tunaaweebwanga ebirungi mu mukono gwa Katonda ne tutaweebwa bibi? mu ebyo byonna Yobu teyayonoona na mimwa gye.