Job 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mikwano gya Yobu abasatu bwe baawulira eby'akabi byonna ebimugwiridde, buli omu n'ajja okuva ewuwe: Elifazi ow'e Teemani, Biludadi ow'e Suki, ne Zofari ow'e Naame. Baali balagaanye bagendere wamu okumukubagiza n'okumusaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mikwano gya Yobu abasatu: Erifaazi Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi, bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne basalawo buli omu okuva ewuwe, ne bajja okumukaabirako n'okumukubagiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mikwano gya Yobu basatu: Elifaazi Omutemani, Biludaadi Omusuuhi, ne Zafari Omunaamati, bwe baawulira emitawaana gyonna egimujjidde, bonsatule ne basalawo buli omu okuva ewuwe, ne bajja okumukaabirako n'okumukubagiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mikwano gya Yobu abasatu bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne bajja buli muntu ng'ava mu kifo kye ye; Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi: ne balagaana wamu okujja okumukaabirako n'okumukubagiza.