Job 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamulengera nga bakyaliko wala, ne batamutegeera, ne bakaaba, ne bayuza ebyambalo byabwe, ne beeyiira enfuufu mu mutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamulengera nga bakyali wala ne batamutegeera, Ne batema emiranga, ne bakaaba, buli omu n'ayuza ekyambalo kye, ne beeyiira enfuufu ku mitwe gyabwe, era nga bwe bagimansa mu bbanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamulengera, ne balaba nga takyafaananika. Ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. Ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala. Ne beeyiira enfuufu mu mitwe, era nga bwe bagimansa waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baayimusa amaaso gaabwe, nga bakyali wala ne batamumanya ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba; ne bayuza buli muntu omunagiro gwe, ne bafuumuulira enfuufu ku mitwe gyabwe eri ggulu.