Job 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batuula naye awo ku ttaka okumala ennaku musanvu n'ebiro musanvu nga tewali amunyeze kagambo, anti baalaba obulumi bw'alimu nga bungi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro nga tewali anyega, olw’obulumi obungi Yobu bwe yalimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batuula wamu naye ku ttaka okumala ennaku musanvu, emisana n'ekiro, nga tewali amugamba kigambo: kubanga baalaba okubonaabona kwe yalimu nga kungi nnyo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batuula wamu naye ku ttaka emisana n'ekiro, okumala ennaku musanvu, nga tewali ayogera naye kigambo, kubanga baalaba okubonaabona okungi kwe yalimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batuula wamu naye ku ttaka ne bamala ennaku musanvu emisana n'ekiro, ne wataba amugamba kigambo: kubanga baalaba ennaku ze nga nnyingi nnyo.