Job 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Sitaani nti: “Wekkaanyizza omuweereza wange Yobu? Teri amufaanana mu nsi, omusajja ataliiko musango, omwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi. Akyagumidde mu bulungi bwe, newandibadde nga wanfukuutirira mmuzikirize awatali nsonga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bw’atyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira, ow'amazima, anzisaamu ekitiibwa, era eyeewala okukola ebibi. Era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wanzikirizisa, omuzikiririze obwereere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali amwenkana ku nsi. Omusajja oyo ye muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, anzisaamu ekitiibwa, era nga yeewala okukola ebibi. Era akyanywezezza obwesigwa bwe, newaakubadde nga wanzikirizisa okumuzikiririza obwereere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi: era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wasaakiriza gy'ali, okumuzikiririza obwereere.