Job 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sitaani n'amwanukula nti: “Lususu ku lususu! Byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Setaani n’amuddamu nti, “Eddiba olw’eddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna by’alina olw’okuwonya obulamu bwe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Setaani n'addamu Mukama nti, “Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sitaani n'addamu Mukama nti: “Ekikwata ku lususu kye kikosa omuntu. Byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe.