Job 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sitaani n'ava awali Omukama, n'alwaza Yobu n'amabwa amabi ennyo, okuva ku bigere okutuuka mu kawompo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'agenda n'alwaza Yobu amayute amabi ennyo omubiri gwonna, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sitaani n'ava awali Mukama n'agenda, n'alwaza Yobu amayute amabi ennyo omubiri gwonna, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe.