Job 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukazi we n'amugamba nti: “Era nno okyagumidde mu bulungi bwo? Vuma Katonda ofe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mukazi we n'amugamba nti, “Okyanywezezza obutayonoona bwo? weegaane Katonda, ofe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mukazi we n'amugamba nti: “Era okyakuuma obwesigwa bwo? Wegaane Katonda, ofe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mukazi we n'amugamba nti Okyanyweza obutayonoona bwo? weegaane Katonda ofe.