Job 20:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Taliraba ku bugga bukulukuta muzigo, n'obwala bw'engezi y'omubisi gw'enjuki n'amata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alisubwa obugga, n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Taliwangaala kulaba ku birungi Katonda by'agaba, Ebiringa emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'amata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Taliwangaala kulaba ku birungi Katonda by'agaba, ebiri ng'emigga egikulukuta omubisi gw'enjuki n'amata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Taatunuulirenga migga, Emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'omuzigo.