Job 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bye yatuuyanira alibizzaayo nga taliddeeko; amagoba g'aggye mu by'atunze taligeesiimiramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde; talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kye yateganira alikiwaayo kyonna, talikirya, Era taasanyukirenga mu bintu bye yafuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliwaayo bye yateganira byonna, talibirya kumukka mu lubuto. N'amagoba g'afunye taligeesiimiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga; So taasanyukenga ng'ebintu bwe biri by'afunye.