Job 20:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yatulugunya abaavu n'abaleka ttayo; yanyaga amayumba g'ataazimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba, yawamba amayumba g’ataazimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yayisa bubi abaavu n'atabafaako, Yanyaga amayumba g'atazimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga yayisa bubi abaavu, n'abalekerera. Yanyaga amayumba g'ataazimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yajooga abaavu n'abaleka; Yaggyawo ennyumba olw'amaanyi so taagizimbenga.