Job 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kino okimanyi okuva mu masooka, okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda, okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe tokimanyi okuva ddi, Bukya omuntu ateekebwa ku nsi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe tokimanyi nti okuva ddi bukya muntu ateekebwa ku nsi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyo tokimanyi obw'edda, Omuntu kasookedde ateekebwa ku ttaka,