Job 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti okujaguza kw'ababi kwa kabanga bubanga, essanyu ly'abeeyisa obubi limala kaseera buseera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono, era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Essanyu ly'ababi liba limpi? Era n'essanyu lya bo abatatya Katonda lya kaseera buseera?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essanyu ly'omubi liba limpi? N'atassaamu Katonda kitiibwa asanyukako kaseera buseera?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'okuwangula kw'ababi kwa kuggwaawo mangu, Era ng'essanyu ly'abatamanyi Katonda lya kiseera buseera?