Job 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
alizikirira emirembe gyonna okufaanana obubi bwe; abaamulaba balibuuza nti: ‘Aluwa?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye: abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye alifuuyibwa embuyaga n'emumalawo ng'enfuufu. Abo abaamulabanga balyebuuza gye yalaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
alifuuyibwa embuyaga n'emumalawo ng'enfuufu. Abo ababadde bamulaba balyebuuza gye yalaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye anaabulanga emirembe gyonna ng'empitambi ye ye: Abo abaamulabanga banaayogeranga nti Ali ludda wa?