Job 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana baabwe babaggyayo ng'eggana; amabujje gaabwe geebuusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo; obuto ne bubeera mu kuzina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazaala omuyeye gw'abaana, Ne baligita ng'obuliga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazaala omuyeeye gw'abaana, ne baligita ng'obuliga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Basindika abaana baabwe abato ng'ekisibo, N'abaana baabwe bazina.