Job 21:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuyinza wa buli kantu ye ani tulyoke tumuweereze? Bwe tumwegayirira kituganyula?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze? Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ye ani Omuyinza w'ebintu byonna tumuweerezenga? Kitugasa ki okumusabanga?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Ye ani Omuyinzawaabyonna tulyoke tumuweerezenga? Kitugasa ki okubaako kye tumusaba?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuyinza w'ebintu byonna kye ki, ffe tumuweereze? Era bwe tunaamusabanga kinaatugasanga kitya?