Job 21:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Ekibonerezo ky'omuntu Katonda akiterekera abaana be’, amwebonerereze yennyini akitegeere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe. Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugamba nti, ‘Katonda abonereza abaana olw'ebibi bya bakitaabwe.’ Naye bakimanye nti Katonda ababonereza lwa bibi byabwe bo bennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugamba nti: ‘Katonda abonereza abaana olw'ebibi bya kitaabwe.’ Katonda abonereze oyo ye yennyini akimanye nti abonerezeddwa lwa bibi bye ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwogera nti Katonda aterekera abaana be obutali butuukirivu bwe. Abasasule ye yennyini abumanye.