Job 21:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettaka ly'omu kiwonvu limuwoomera; buli muntu yenna amugoberera, n'ebbinja ddene eryamusookayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera, abantu bonna bamugoberera, n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bangi abamuwerekera okumuziika, Abamu bakulemberamu, n'abalala ne bavaako emabega, Ne bamuyiwako bulungi ettaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu nkumu abawerekera nga bagenda okumuziika. Abamu bakulemberamu, abalala ne bavaako emabega, ne bamuyiwako bulungi akataka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amafunfugu ag'omu kiwonvu ganaamuwoomeranga, N'abantu bonna banaawalulwanga ennyuma we, Nga bwe baamukulembera abatabalika.