Job 21:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno muyinza mutya okunkubagiza n'omutali nsa? Bye mwanukudde si kirala wabula bulimba busa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu? Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno munambudaabuda mutya nga mwogera ebigambo ebitaliimu? Kubanga bye munziramu byonna bya bulimba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mmwe munankubagiza mutya n'ebigambo ebitalina makulu? Nga ne bye munziramu birimu bulimba busa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno munsanyusiza mutya obwereere, Kubanga mu kuddamu kwammwe musigaddemu obulimba busa?