Job 22:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyova tolaba kubanga enzikiza nnyingi, n'omujjuzo kyeguvudde gukubbika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba, era lwaki amataba gakubikkako?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekizikiza kikubuutikidde toyinza kulaba, Olinga abikiddwako amazzi amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekizikiza kikubuutikira n'otosobola kulaba, n'obikkibwa engezi y'amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba ekizikiza n'otoyinza kulaba, Amazzi amangi ne gakubikkako.