Job 22:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo olisanyukira mu Muyinza wa buli kantu, olisitulira Katonda amaaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna era oyimuse amaaso go eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Omuyinza w'ebintu byonna, alikuwa essanyu lingi, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda nga tolina ky'otya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda Omuyinzawaabyonna lw'alikuwa essanyu eringi n'omutunuulira nga tolina ky'otya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga lw'onoosanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda.