Job 22:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olimuwanjagira n'akuwuliriza; olituusa bye wasuubiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olimusaba, alikuwulira, era olituukiriza obweyamo bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoomusabanga, naye anaakuwuliranga. Naawe onoosasulanga obweyamo bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaakuwuliranga ng'oliko ky'omusaba n'otuukiriza kye weeyamye okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onoosabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga; Era onoosasulanga obweyamobwo.