Job 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bw'oliba omutuukirivu, ekyo Omuyinza wa buli kantu kimugasa ki? Amakubo go ne bwe gaba gatuukiridde, anaagasirwamu ki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu? Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda alina kyaganyulwamu ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ki ggwe okuba nga watukirira mu amakubo go?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe okuba omwenkanya kirina kye kiganyulamu Katonda? Wadde okubaako kye kimuyamba ggwe obutabaako ky'ovunaanibwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w'ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go?