Job 22:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda bo wabasaliranga emisingo awatali nsonga, abantu n'obambula engoye zaabwe, n'obaleka bwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga; waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga waggya ku baganda bo emisingo egy'obwereere, N'obambula engoye zaabwe n'obaleka bwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waggya ku baganda bo emisingo egy'obwereere, n'obambulamu n'engoye zaabwe n'obaleka bwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy'obwereere, N'oyambula abaali obwereere ebyambalo byabwe.