Job 22:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannamwandu wabagoba ngalo nsa, bamulekwa n'obamala amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde; abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wegobako bannamwandu n'otobayamba. Walumyanga ne bamulekwa, ng'obanyagako ebintu byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bannamwandu wabeegobako n'otobayamba. Walumyanga ne bamulekwa, ng'obanyagako ebyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wasindika bannammwandu nga tebalina kintu, N'emikono gy'abatalina kitaabwe gyamenyeka.