Job 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso ye amanyi ekkubo lye nkwata; bw'aliba angezezza, ndivaayo nga nninga zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye amanyi amakubo mwe mpita, bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye amanyi ekkubo lye nkwata. Bw'alimala okungeza, ndivaamu nga zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ye amanyi ekkubo lye nkwata. Bw'alimala okungeza, ndivaamu ntukudde nga zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.