Job 23:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo omutuufu yandiyanze ensonga gy'ali; nandiwonyezeddwa omulamuzi wange emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye, era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo ow'amazima ayinza okuwoza naye, Nange nandyejjerezeddwa omulamuzi wange ne biggwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo omwesimbu ayinza okuwoza naye. Omulamuzi wange yandinnejjerezza ne biggwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyo ab'amazima bandiyinzizza okuwoza naye; Bwe nnandiwonyezebbwa bwe ntyo ennaku zonna eri omulamuzi wange.