Job 23:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nnyambuka gy'akolera, simulaba, bwe nkyukira emaserengeta, simulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba, bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda bw'akola omulimu mu bukiikakkono, ssiyinza kumulaba. Bwe yeekweka mu bukiikaddyo, ssiyinza kumulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda akolera mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, wabula siyinza kumulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku mukono ogwa kkono, bw'akola omulimu, naye ne ssiyinza kumulaba: Yeekweka ku mukono ogwa ddyo n'okulaba ne ssiyinza kumulaba: