Job 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lwaki Omuyinza wa buli kantu teyasalawo budde? Lwaki abamumanyi tebamanyi nnaku ze?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera? Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki Omuyinza w'ebintu byonna tateekawo kiseera kya kusaliramu musango? Lwaki n'abo abamumanyi tebalaba bwasalira ababi omusango?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Lwaki Omuyinzawaabyonna tateekawo biseera bya kusaliramu musango? Lwaki abaweereza be tebalaba bw'asala musango mu bwenkanya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuyinza w'ebintu byonna kiki ekimulobera okutereka ebiro? N'abo abamumanyi kiki ekibalobera okulaba ennaku ze?