Job 24:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okusinda kw'abafa kusituse mu kibuga; emyoyo gy'abafumitiddwa giwanjaga. Naye essaala yaabwe Katonda tagitegera kutu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga, n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi. Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bafa basinda mu kibuga, N'abafumitiddwa balajjana. Naye Katonda tafaayo ku kwegayirira kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafa basinda mu kibuga n'abafumitiddwa badaaga. Naye Katonda tafaayo ku bisobyo bibakolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu basinda nga bali mu kibuga ekirimu abantu abangi, Emmeeme y'abo abafumitiddwa n'ekaaba: Naye Katonda takibala okuba obusirusiru.