Job 24:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abo be bajeemera ekitangaala, abatamanyi makubo gaakyo; abatanywerera mu bisinde byakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Waliwo abo abajeemera omusana, abatamanyi makubo ge, abatasigala mu kwaka kwagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo abajeemera omusana, Tebamanyi bya musana, Beewala okubeera mu kkubo lya gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Waliwo abajeemera ekitangaala. Beewala era tebatambulira mu kkubo omuli ekitangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bali ku muwendo gw'abo abajeemera omusana; Tebamanyi makubo gaagwo, So tebabeerera mu mpenda zaagwo.