Job 24:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eriiso ly'omwenzi lyezira kawungeezi; agamba nti: ‘Teri anandaba,’ amaaso agakuuma mabikke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe, ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’ n’abikka ne ku maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwenzi alinda obudde okukwata ekizikiza, Naagamba nti, “Tewali anandaba.” Naakweka amaaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja omwenzi alinda budde kukwata, n'agamba nti: ‘Tewali anandaba.’ Amaaso ge n'agakweka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'eriiso ly'omwenzi lirindirira ekizikiza, Ng'ayogera nti Tewali liiso erinandaba: Ne yeefuula amaaso ge.