Job 24:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'ebbugumu n'ekyeya bwe bimalawo amazzi g'omuzira, n'amagombe bwe gamalawo abo abakola ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira, aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'ebbugumu ly'ekyeya bwe limalawo amazzi g'omuzira, N'amagombe bwe gatyo bwe gamalawo omwonoonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'ebbugumu ly'ekyeya bwe limalawo amazzi g'omuzira ogusaanuuse, n'amagombe bwe gamalawo omwonoonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyeya n'ebbugumu bimalawo amazzi agava mu muzira: N'amagombe bwe gatyo gamalawo abo abayonoona.