Job 24:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu ebituuti by'ettaka babiseeseetula, banyaga amagana ne bagalunda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo, ne balunda ebisolo bye babbye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo abajjulula obubonero bw'ensalo, ne beeyongeza ettaka, Banyaga ebisolo, ne babyerundira ng'ebyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo abajjulula empaanyi z'ebituuti, okugaziya ettaka lyabwe. Banyaga ebisolo, ne babyerundira ng'ebyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wabaawo abajjulula obubonero bw'ensalo; Banyaga embuzi lwa maanyi ne baziriisa.