Job 24:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Katonda asikambulawo ab'amaanyi n'obuyinza bwe; yandibeerawo, naye obulamu bwe tebwesiguza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe. Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda alina amaanyi okuggyawo abazira, Asituka n'abamalako essuubi ery'okuba abalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Katonda alina amaanyi okuggyawo bannakyemalira. Asituka n'abamalako essuubi ery'okuba abalamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era awalula n'ab'amaanyi olw'obuyinza bwe: Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu.