Job 24:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oba si bwe kiri, ani asobola okunnumiriza obulimba, n'ajungulula ebigambo byange?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba, n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oba nga si bwe kiri, ani anaannumiriza nti nnimba, Naafuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba si bwe kiri, ani anannumiriza nti nnimba, ne bye njogera temuli nsa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba nga si bwe kiri kaakano, ani anannumiriza nga ndi mulimba, N'afuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa?