Job 24:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaavu babasindiikiriza okuva mu kkubo, bawaliriza abanaku b'omu ggwanga okwekweka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo, ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagoba abaavu bave mu luguudo. Abaavu ab'omu nsi baba balina kwekweka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bagoba abaavu bave mu luguudo. Abanaku abali mu ggwanga, bonna balina kwekweka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakyamya abeetaaga mu kkubo: Abaavu ab'omu nsi beekweka wamu.