Job 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'endogoyi z'ettale mu ddungu, abaavu bafuluma okukola emirimu gyabwe, nga banoonya ekyokulya, olukoola lwe luwa abaana baabwe emmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa, n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere; mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo abaavu ne baba ng'entulege mu ddungu. Babeera eyo nga bakola okufuna eky'okulya, n'okuwa ku baana baabwe balye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo abaavu ne baba ng'entulege: babeera eyo mu ttale nga bakola okunoonya akamere, ak'okuwa ku baana baabwe balye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ng'entulege mu ddungu Bafuluma eri omulimu gwabwe nga banoonyeza ddala eby'okulya; Ensiko ebawa emmere ya baana baabwe.