Job 24:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Basala essubi mu nnimiro, ne banoga mu mizabbibu gy'ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye, ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banoonya emmere ey'ebisolo byabwe mu nnimiro ezitali zaabwe. Era banoga ezabbibu mu nnimiro za babi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnimiro ezitali zaabwe mwe banoonya kye bawa ensolo zaabwe. Banoga ku mizabbibu egirekeddwa mu nnimiro z'aboonoonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Basala emmere ey'ensolo zaabwe mu ttale; Era banoga ezabbibu ez'omubi.