Job 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batotobadde enkuba y'omu nsozi, beerippa ku njazi olw'okubula obwewogomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkuba y’oku nsozi ebatobya, ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enkuba ebatobeza mu nsozi. Ne beekwata ku lwazi, nga babuliddwa we beggama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkuba ebatobeza mu nsozi. Ne beekwata ku lwazi, nga we beggama tewali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batoba n'oluwandaggirize olw'oku nsozi, Era bavumbagira olwazi nga babuliddwa we beggama.