Job 24:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kamulekwa bakasikako ku mabeere; akaana k'omunaku bakatwala ng'omusingo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere; omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo abakwakula abatalina kitaabwe ne babaggya ku mabeere, Ne batwala omwana wo mwavu okuba omusingo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo abakwakula abaana abatalina bakitaabwe ne babaggya ku bannyaabwe Ne batwala omwana w'omwavu, ng'omusingo gw'ebbanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wabaawo abakwakula abatalina kitaabwe okubaggya ku mabeere, Ne baggya omusingo ku mwavu: