Job 25:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagye ge gabalika? Ani ekitangaala kye gwe kitaaviirayo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaggye ge gasobola okubalibwa? Ani atayakirwa musana gwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataakirwa musana gwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagye g'alina tegabalika. Ekitangaala kye kyakira buli wantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataviirwayo omusana gwe?