Job 26:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tegereza, bino by'ebitono ku bikolwa by'amakubo ge. Nga bye tuwulira ku ye kagambo ka kyama! Ani alisobola okutegeera okubwatuka kw'obuyinza bwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola. Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali! Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebyo katundu butundu ak'ebyo by'akola. Era bye tumuwulirako bye bitono ddala. Naye obuyinza bwe obw'amaanyi ani ayinza okubutegeera?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebyo katundu butundu ak'ebintu by'akola. Era bye tumuwulirako bye bitono ddala. Naye obuyinza bwe obw'amaanyi ani ayinza okubutegeera?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, gano ge mabbali gokka ag'amakubo ge: N'akagambo ke tumuwulirako nga katono! Naye okubwatuka okw'obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera?