Job 27:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeebaka nga mugagga, naye gwe gusemba; bw'azibula amaaso ge, nga tewakyali kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo, kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agenda okwebaka nga mugagga, kyokka taliddayo kuba bw'atyo. W'alizibulira ati amaaso ng'obugagga bwe tebukyaliwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agenda okwebaka nga mugagga, Kyokka taliddayo kuba bw'atyo. W'azibulira ati amaaso ng'obugagga bwe bubuzeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Agalamira nga mugagga, naye taakungulwenga; Azibula amaaso, kale nga takyaliwo.