Job 27:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mazima Omukama nga mulamu, eyanzigyako eddembe lyange, Omuyinza wa buli kantu eyaleeta ennyiike mu mwoyo gwange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima, oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nga Katonda bw'ali omulamu anziggyeko eddembe lyange, Era Omuyinza w'ebintu byonna, andeetedde okunyolwa mu mwoyo, gwe ndayira nti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Katonda atampisizza bulungi, era Omuyinzawaabyonna andeetedde okunyolwa mu mwoyo, gwe ndayira nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga Katonda bw'ali omulamu alidde ensonga yange; Era Omuyinza w'ebintu byonna, eyeeraliikiriza emmeeme yange;