Job 27:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwonoonyi bw'asalwako, aba akyasuubira ki, nga Katonda amuggyeko obulamu bwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako, nga Katonda amuggyeko obulamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ssuubi ki atamanyi Katonda lya lina, Katonda ng'amukomeza, N'amuggyako obulamu bwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atassaamu Katonda kitiibwa kiki ky'asuubirayo nga Katonda amukomezza n'amuggyako obulamu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga essuubi ly'atamanyi Katonda kye ki, newakubadde nga yeefunira amagoba, Katonda bw'aggyawo obulamu bwe?