Job 28:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amasonko n'ebirawuli tebirina we bijjira, omuwendo gwago gusingira wala ogw'amalulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako; omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwendo gwago gusingira ddala amayinja ga kolali n'amayinja ag'endabirwamu. Weewaawo, omuwendo gw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kuba ag'omuwendo, amagezi gasingira wala amayinja agayitibwa korali, ne kristaalo, ne luulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebaayogerenga ku kolali n'amayinja ag'endabirwamu: Weewaawo, omuwendo ogw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.