Job 28:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu enzikiza agissaako ekkomo; anoonya mu bunyomero eyo ewala, azuule amatale mu kazigizigi ne mu kizikiza ekikutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi, asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bagoba enzikiza nga bakoleeza attaala, Ne banoonya eyo mu ttaka wansi, Amayinja mu bunyomero, mu kkuzimu, ge banaasimayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bagoba enzikiza nga bakoleeza emimuli, ne banoonya eyo mu ttaka wansi ebiyinja bye banaasimayo mu bunyomero eyo ekuzimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu babibira ekizikiza, Ne bakenneenya okutuuka ku nsalo ekomererayo, Amayinja ag'ekizikiza ekikutte n'ag'ekisiikirize eky'okufa.