Job 28:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asima obuya ewala n'abantu gye basula, mu bifo ebigere gye byerabira; aleebeeta n'ayuuga ewala eyo okuva ku bantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera, mu bifo eteyita bantu, ewala okuva abantu gye bayita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Basima ne bakira ddala eyo ewala eteri bantu, Abantu gye batatambulira, Bakira ku miguwa, ne babeera eyo bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bayiikuula eyo ewala eteba bantu, n'abatambuze gye batayita, ne bawanirirwa emiguwa kwe beewuubira okukka, nga bali eyo bokka ku bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Basima obunnya obuli ewala n'abantu we batuula; Beerabirwa ekigere ekiyitawo: Balengejjera wala n'abantu, bawuubibwawuubibwa eruuyi n'eruuyi.