Job 29:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukisa gw'eyali ng'azikirira gwajjanga ku nze, n'omutima gwa nnamwandu naguleetera okujaganya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa, ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Be nnawonyanga okufa bansabiranga omukisa, Ne bannamwandu bye n'abakoleranga byabasanyusanga ne bayimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Be nawonya okufa bansabiranga. Bannamwandu bye nabakolera byabasanyusa ne bayimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala okuzikirira: Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu.